Discover millions of ebooks, audiobooks, and so much more with a free trial

Only $11.99/month after trial. Cancel anytime.

Muhammad Mustafa
Muhammad Mustafa
Muhammad Mustafa
Ebook600 pages5 hours

Muhammad Mustafa

Rating: 0 out of 5 stars

()

Read preview

About this ebook

Ekitabo kirimu embeera n’ebitendo bya Nnabbi nga muto, mu biseera by’obuvubuka ne bwe yali ng’amaze okufuuka Nnabbi; okumuteekateeka n’okumutuma, wamu n’ebyamagero bye. Ebizibu ebyamutuusibwako awamu n’abagoberezi be; okusenguka kw’Abasiraamu okugenda mu Abyssinia, okusisinkana ab’ebika eby’enjawulo, ensisinkano ne Bannamadiina mu Aqaba, olukwe olwakolebwa okumutemula, n’okusenguka okugenda e Madiina. Ekitabo kiteekeddwateekeddwa mu ngeri ey’ebyagwawo buli mwaka okuva ku mwaka gwasooka okutuuka ku gw’ekkumi n’esatu. Mulimu okwanukula ebintu abalabe b’Obusiraamu bye batera okuyitamu okwagala okubuzaabuza abalala mu byafaayo bya Nnabbi. Ekitabo kiyamba omuntu okwagala Nnabbi ekiyinza okumuviirako okumukoppa embeera ze n’empisa ze ennungi.

LanguageKiswahili
Release dateDec 12, 2012
ISBN9781301407040
Muhammad Mustafa

Related to Muhammad Mustafa

Related ebooks

Related categories

Reviews for Muhammad Mustafa

Rating: 0 out of 5 stars
0 ratings

0 ratings0 reviews

What did you think?

Tap to rate

Review must be at least 10 words

    Book preview

    Muhammad Mustafa - Osman Nuri Topbas

    Olujegere Olusooka era olw’Enkomerero olwa Bannabbi,

    Asinga Ekitiibwa mu Nsi Ebbiri

    Nnabbi w’Abantu n’Amajinni

    Omukulembeze w’Ebibuga Ebyemizizo

    Ekitangaala ky’Ebitonde Byonna era Okusaasira eri Ebitonde.

    NNABBI MUHAMMADI OMULONDEMU

    (Okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye)

    Bwe tulowoolereza ku ky’Ekitangaala kya Muhammadi okubeera nga ye nsonga ey’okubeerawo kw’ebitonde byonna, kiba tekisoboka kukola bwenkanya kumalayo bikwata ku bulamu obwenjawulo ennyo era obutalina bbala nga tuyita mu bigambo bino ebikkakkamu, obw’omuntu eyaweebwa ekitiibwa eky’okubeera Omwagalwa wa Omutonzi. Awamu n’ekyo, emigaso butabalika girindiridde buli oyo yenna agezaako nga bw’asobola okunyumya ku bulamu bwa Nnabbi ow’emikisa (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) era ebintu ebikwata ku Nnabbi n’abituusa ku bantu b’emirembe emirala. Mu ngeri eyo y’emu naffe tujja kwebala nga bannamukisa era abafunye ekitiibwa, singa mu mulimo guno gwe tukola tunaasobola okufuna, ne bwe kiba kitono kitya, okulingiza ku bintu ebikwata ku Nnabbi eby’enjawulo era ne tugoberera empisa ze ensuffu. Kiteekwa kitegeerekeke nti tuli wala nnyo n’okwebala nti tutegedde nnyo era ne tunnyonnyola Ow’ekitiibwa Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) nga bwe kimugwanira n’okumuwa ekitibwa kye ekimugyamu. Okusinziira ku bunene bwa Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye), ebigambo byaffe birina okutwalibwa nga okugulu kw’enjuba kumu okw’ekitangaala okuyita mu kisaanikira ekibikka ettaala. Allah Oweekitiibwa ategeeza nti:

    لَقَدْ كَانَ لَكُمْ فِي رَسُولِ اللّٰهِ أُسْوَةٌ حَسَنَةٌ لِّمَنْ

    كَانَ يَرْجُو اللّٰهَ وَالْيَوْمَ الآخِرِ وَذَكَرَ اللّٰهَ كَثِيرًا

    Mazima ddala mu Mubaka wa Allah mulinamu eky’okulabirako ekirungi eri oyo yenna aba asuubira okusisinkana Allah wamu n’okutuuka ku Lunaku lw’enkomerero era n’ajjukira nnyo Allah. (al Ahzaab, 33 : 21)

    Allah Owoobuyinza era alayira obulamu bwa Nnabbi olw’okulaga ekitiibwa Nnabbi ky’alina mu maaso ge n’agamba nti لَعَمْرُكَ Ndayidde obulamu bwo! … (al Hijri, 15 : 72). N’olw’ekyo tekisoboka, ng’omuntu ayita mu bigambo obugambo, okutegeera n’okwetooloola okumanya obulamu obwo obwatwalirwa waggulu.

    Sheikh Ghalib, omu ku bantu abaatiikirivu mu batontomi b’omu biseera bya Ba-Ottoman, ng’ayita mu bigambo bino alaga okwagala kw’alina eri Nnabbi Ow’emikisa (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye):

    Mukama waffe …. Kabaka wa Bannabbi bonna, Kabaka omwatiikirivu.

    Oli okuvumula okutaggwaawo, Mukama wange, eri abo abalwadde abatalina mwasirizi.

    Mukama wange, oli mwoyo ogusinga okuba n’ekitiibwa mu maaso ga Katonda,

    Oyo eyalayira obulamu bwo, Mukama wange, n’ebigambo Ebitukuvu nga bissiddwa mu nkola,

    Ahmad, Mahmuud era Muhammad, oli, atenderezebwa mu bitonde byonna.

    Okusaasira gye tuli okuva ewa Katonda waffe, ng’onywezeddwa okusinziira ku Butukuvu …

    Ekitiibwa kya Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kiri waggulu nnyo mu maaso ga Allah okutuusa nti Allah Owoobuyinza okugondera Nnabbi, akubala ng’okumugondera ye kennyini. So nga okugyemera Nnabbi Ow’omukisa (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) ne bwe kuba kutono kutya, kumala okwonoona emirimo gy’omuntu egy’eddiini era ne kugifuula egitalina mugaso. Okuwa Nnabbi ekitiibwa kutwalibwa ng’okugezesa okutya omuntu kw’atyamu Allah gye kukoma; wadde n’okwogera eri Nnabbi okutali kulungi kwabalibwa ng’okwali kulaga omuntu bwe yali yasigalamu obutamanya bw’Ebiseera Eby’obutamanya. Allah Oweekitiibwa yalaga obukulu bw’okujjukiranga Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) mu mitima gyaffe n’obutatuva ku nnimi zaffe, n’atuuka n’okutulagira mu buli sswala ezisaalibwa buli lunaku okusomanga nti:

    اَلسَّلاَمُ عَلَيْكَ أَيُّهَا النَّبِيُّ وَرَحْمَةُ اللّٰهِ وَبَرَكَاتُهُ

    Emirembe gibeere ku ggwe owange Nnabbi n’okusaasira kwa Allah n’emikisa gye!

    Wadde ng’omuntu abeera mu sswala okulamusa obulamusa omuntu omulala nga kimuviirako esswala ye okwonooneka, naye Allah Oweekitiibwa teyakoma ku kya kujjulula kya kusaalira Nnabbi We mu tteeka lino naye eky’okusaalira Nnabbi n’okukifuula yakifuula tteeka. Kino Imaam al Ghazaali akyogerako bw’atyi:

    Ng’oweereza ebiramuso byo eri Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) mu biseera by’esswala, kitwale nti w’ali mu buntu, mu mutima gwo. Beera mumativu nti ebiramuso byo bijja kumutuukako era nti ajja kukuddamu mu ngeri esinga obulungi. ((ihyaa-u Uluumu ddiini, I, 224)

    Khalid al Baghdadi, Seeka ow’ekkubo ly’ekisuufi ery’olujegere lw’eki Naqshband omwatiikirivu, mu bbaluwa ye ey’okuna mu Maktuubaati (biwandiiko bye) ayogera ebigambo by’omuyivu Shihaab ibn Hajar al Makki eyagamba nti:

    Bwe tusoma ‘as Salaamu alayka’ nga tuli mu kutuula mu sswala, okutoola salaamu kuno kuba kwolekezeddwa eri Nnabbi nga kulinga okusaba Allah Owoobuyinza okutegeeza Omubaka ku kusaba kw’abagoberezi be. Ng’amaze okulaba okusaba kw’abagoberezi be mu nsi eno, Nnabbi ajja kuwa obujulizi ng’abawolereza ku Lunaku lw’enkomerero. N’okujjukira okubeerawo kwe okw’omwoyo nga tusaala kiba kyongera omutima okumanya n’okussa omwoyo ku sswala.

    Kizibu okutegeerera ddala n’okunnyonnyola obulamu bwa Nnabbi obw’omuwendo, oyo ensi gwe yeewuliriramu, obw’omuwendo era obuwanvu. Ekigendererwa kye tulina mu kwogera ku linnya lye ery’omukisa, bye bigambo byaffe okufuna ekitiibwa, oluusi naffe okufuna omugabo mu kitiibwa ekyo. N’olw’ekyo tukubiriza abasomi baffe okutusonyiwa ebigambo byaffe obutasobola kuwa kifaananyi kituufu ku bbeeyi ya Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) n’ekitiibwa kye ekisuffu.

    Awatali kubuusabuusa, ennimi nazo zifuna okulemererwa kwe kumu ng’okutegeera bwe kufuna, nga kino kiva ku butasobola kulaba n’okufumiitiriza Omubaka Ow’emikisa (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye). Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kye kifo omuli ebikusike ebitakoma, ng’omuntu asobola kubituukako okusinziira ku maanyi n’obwesimbu bw’okwagala kw’alina gy’ali. Tusaba buyambi okuva eri Allah Oweekitiibwa okutusobozesa okutuuka ku kutegeera obulamu bwa Nnabbi ow’ekitiibwa (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) n’okufuna obusobozi okubaako ne kye tujja mu mpisa ze ez’okulabirako; era atusonyiwe olw’ensobi ze tuyinza okukola mu bigambo nga tuli mu mulimu ogw’okunnyonnyola obulamu bwe obwatiikirivu.

    Nga tuli mu buwufu bw’abaatukulembera abalunngamu, tuddamu ebigambo bino:

    Ayi Allah! Buliwa obuddukiro bw’aboonoonyi, bwe kiba nti oliwo kusonyiwa balongoofu na bawulize bokka? Ani gwe banaawanjagira singa osalawo kusaasira balongoofu era abatya Katonda?!

    Naffe obubudamu tubunoonya mu sseamayanja w’okusaasira kwa Katonda era ne tumusaba okutusonyiwa olw’okuseerera kw’ennimi zaffe okutali kugenderere, okuyinza okuva ku nsobi n’obuvumu bwe tutandise nabwo okugezaako okunnyonnyola obulamu bwa Nnabbi ow’ekitiibwa (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye), wadde nga omukisa mutono ebigambo gwe biyinza okuwa.

    Ayi Allah! Ku lwa Nnabbi Muhammadi Omulondemu (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye), tukusaba otusonyiwe.

    Amiina!

    Abasomi baffe abalungi!

    Ekitabo kino kye tuwandiise kyongereza ku kitabo eky’okuna ekya Nebiler Silsilesi, ekyasooka okufulumizibwa mu lulimu Olutuluuki. Ebitabo ebisatu ebisooka bikwata ku bulamu bwa Bannabbi abaasooka. Ekitabo eky’okuna, ekyayogera ku bulamu bwa Nnabbi Muhammadi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) n’ebiseera bye mu bufunze, kye kino kye tulanduludde mu kitabo kino ekipya kye tufulumizza nga tukigaziyizza mu bitabo ebinene bibiri nga ekisooka kyogera ku biseera bye ng’ali Makka ate eky’okubiri ne kyogera ku biseera by’obulamu bwa Nnabbi eby’e Madiina.

    Nneebaza ne sekwebaza Murat Kaya olw’obuyambi bw’ampadde mu kunoonya ensibuko ya hadiisi n’ebikwata ku bulamu bwa Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye). Okwebaza kwange era kugenda eri abavvuunuzi abo abakoze omulimu omunene mu kuvvuunula ekitabo kino. Amannya g’abawandiisi abo abaasooka okuwandiika ku bulamu n’ebiseera bya Omubaka Ow’emikisa nago ngogeddeko n’okugassaamu ekitiibwa. Mbasabira Allah abasonyiwe era abasaasire. Okuwangula kuva wa Allah Oweekitiibwa Yekka.

    Osman Nûri TOPBAŞ

    January (Gatonnya) 2005

    Uskudar

    ENNYANJULA

    Obukulu Bw’okumanya Ebyafaayo Bya Nnabbi Olw’okutegeera N’Okussa Obusiraamu Mu Nkola

    Waliwo ebintu bingi eby’enjawulo ebiyamba mu kuteekateeka obugunjufu bw’omuntu n’empisa ze. Abantu bafuna embeera zaabwe ez’obuntu, olulimi, eddiini n’ebitendo eby’empisa nga babijja ku by’okulabirako by’abantu ababeetoolodde be batwala ng’eby’okulabirako. Ng’oggyeeko abantu abatono ennyo, naye okutwalira awamu, eyo y’embeera y’obutonde bw’omuntu. Okugeza, buli mwana okwogera atandika kukuyigira ku bakadde be, oluvannyuma n’agenda ng’ayiga okutuusa lw’ayiga n’ennimi endala. Bw’atyo bw’ayiga ennimi ezo aba ayita mu kukoppa byakulabirako birala.

    Okusikirizibwa kuno okukoppa kitendo kikulu nnyo mu kuzimba embeera ekiri mu buli muntu. Okuyiga, ebiseera ebisinga obungi, kulimu kuteekawo byakulabirako bya kukoppa, kye kimu birungi oba bibi. Omuntu afuna embeera ze ng’ayita mu bintu ebimuteekebwako embeera mw’awangaalira okutuusa okukoppa kwe gye kukoma. Wadde ng’olulimi lwo lufunibwa mu ngeri ya butonde, ebitendo eby’eddiini n’eby’omwoyo byo tebifunika mangu.

    Ensonga ereeta obuzibu buno, kwe kuba nga ku maanyi g’okusalawo, omuntu agattako obwagazi bw’omwoyo (nafsi), ne Sitaane, ng’ebimu ku bigezo eby’amaanyi. Enkonge zino ebbiri ziziyiza omuntu okukola ebirungi era ne zifukuutirira omuntu okugenda mu maaso ng’ali mu kkubo eriri ekyennyume kye kkubo eddungi. N’olw’ekyo, waliwo obwetaavu obw’amaanyi eri Bannabbi n’abantu abatukuvu abalina emitima emigonvu, abaatuukiriza obulamu bwabwe obw’omwoyo, nga ku bwo kwe baazimbira embeera zaabwe zonna, nga bamaze okwesumululako enjegere z’obwagazi bw’emyoyo gyabwe era nga bagobye ne Sitaane. Ekitali ekyo, omuntu tasobola kuwona bugayaavu, obubuze wamu n’obujeemu, ebiyinza okumufiiriza okwesiima okw’olubeerera. Era eyo ye nsonga lwaki abantu beesiba ku kutambulira ku kkubo ly’abo be beegomba, ka libe ddungi oba bbi, era nga kw’abo kwe beegeraageranyiza. Kyakusaalirwa olwaleero okulaba ng’aboonoonyi abavundu b’empisa, abaawangulwa obwagazi bw’emitima gyabwe, nga baleka ababalaga ekkubo okwonoona obulamu bwabwe. Kino mu byangungu kuba kuddira bantu abakyamu ne babatuuza ku nnamulondo z’emitima gyabwe, nga gye biggweera nga tebalina mulala gwe bakwenyakwenyezza okuggyako bo bennyini.

    Ruumi annyonnyola embeera eno mu nnyiriri zino wammanga:

    Okulaba endiga ng’edduka omusege tekyewuunyisa, kubanga omusege mulabe waayo wa lulango. Naye ekiyinza okwewuunyisa kwe kulaba ng’endiga egudde mu kkwano n’omusege!

    Mu kifo ky’okulekera emisege emitima gyaffe mu kiseera kyaffe ekitono ennyo ku nsi olwo ne tufiirwa ebyengera ebitaggwaawo, tuteekeddwa emitima egyo gyonna okugiwaayo eri eby’okulabirako ebisinga obulungi, nakyo nga ye mukulembeze w’ensi eno yonna, mukama wa Bannabbi, Muhammadi Mustafa (Omulondemu) (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye), ne tumugondera nga twagala era ne tumufuula Kabaka afuga emitima gyaffe. Okumwagala Allah Owoobuyinza yakufuula kwa tteeka, nga bwe kirambikibwa mu ayah eno wammanga ne ayah ezigifaanana mu Kulaane nti:

    اَلنَّبِيُّ أَوْلَى بِالْمُؤْمِنِينَ مِنْ أَنْفُسِهِمْ

    Nnabbi y’asinga okubeera Abakkiriza okumpi n’okusinga bo kennyini… (al Ahzaab, 33 : 6)

    Mu bigambo bya Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) ebyanyumizibwa Abu Hurayira, okwagala Nnabbi kakwakkulizo ka imaan (obukkiriza).

    Ndayira Oyo afuga obulamu bwange, teri muntu mummwe ajja kuba na bukkiriza okutuusa lw’ananjagala okusinga bw’ayagala kitaawe n’abaana be. (Bukhari, ekitabo 1, ekitundu 2, namba 13)

    Mu hadiisi endala eyanyumizibwa Anasi (Allah amusiime), obuwoomerevu bw’obukkiriza butuukibwako singa Allah ne Omubaka we babeera nga be basinga obuganzi eri omuntu omukkiriza okusinga ekirala kyonna. (Bukhari, ekitabo 1, ekitundu 2, namba 15)

    Ekyafaayo kino ekyanyumizibwa Abdalla ibn Hishaamu (Allah amusiime), kiraga eddaala okwagala kwaffe eri Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kwe kwandituuse:

    ‘Olunaku lumu Umaru (Allah amusiime) yatambulatambulako ne Nnabbi wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) ne wabaawo Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) we yakwatira omukono gwa Umaru, Umaru kwe yava okugamba nti:

    Ndayira Allah, nkwagala nnyo.

    Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yamubuuza nti:

    Umaru! Onjagala n’okusinga abaana bo?

    Umaru yaddamu nti: Yee!

    Onjagala n’okusinga abantu bo aboowaka?"

    Yee, Nnabbi wa Allah.

    Onjagala n’okusinga eby’obugagga byo?

    Yee, Nnabbi wa Allah, nkwagala n’okusinga eby’obugagga byange!

    Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yeeyongera n’abuuza nti:Onjagala n’okusinga bwe weeyagala?

    Umaru (Allah amusiime) yaddamu nga bw’asikattiramu nti: Nedda, Omubaka wa Allah.

    Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kwe kumugamba nti: Obukkiriza bwo tebujja kujjula okutuusa okwagala kwo gyendi lwe kunaasinga engeri gye weeyagalamu.

    Umaru (Allah amusiime) yagenda n’abeerako yekka akaseera oluvannyuma n’akomawo. Ng’ayimiridde mu makkati g’omuzikiti yawogganira waggulu eddoboozi lye gye lyali likoma nti:

    Omubaka wa Allah, kati nkwagala n’okusinga bwe nneeyagala!

    Wano Omubaka Ow’ekitiibwa kwe kumugamba nti: Kati nno Umaru! ekyali kitegeeza nti kati obukkiriza bwo bujjudde. (Bukhari, Aymaan, 3)

    Akakwakkulizo k’okwagala, kwe kujjukira, buli kaseera, omuntu gw’oyagala n’okulaba nga mukwatagana mu bikolwa ne mu birowoozo. Omuntu okufuna omutima ogujjudde okwagala Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye), yeetaaga okuyiga Sunna ze n’okuzikoppa n’obwegendereza n’okuziwa ekitiibwa. Obusiraamu tebuyinza kuteekebwa mu nkola mu ngeri ematiza awatali muntu kumanya bikwata ku bulamu bwa Nnabbi n’ omutima okugujjuza okumwagala. Ekkubo erituusa omuntu okufuna okwagala kwa Allah Oweekitiibwa, kwe kwagala Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye). Naye okumwagala kwetaagisa okumumanya; ate awatali kwagala Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) okugenda ewala, omuntu tayinza kufuna bukkiriza butuukiridde. Olw’ensonga ezifaanana bwe zityo, Nnabbi Ow’emikisa yassa essira ku kuteekawo okwagala okw’ekika ekyo, abagoberezi be n’abannyonnyola engeri ensengejje ekwata ku ngeri y’okutumbula omukwano guno oguteekeddwa okubeerawo.

    Okuva Omubaka Ow’ekitiibwa (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) lw’ali nga ye ntikko ya Bannabbi, obulamu bwe bukunngaanya era ne businga obulungi bwonna obwa Bannabbi abaasooka abasukka mu mitwalo ekkumi n’ebiri mu enkumi ennya (124,000) be bagamba nti baatumwa. Teyakoma ku kubeera na kirabo kya kulunngamya bantu ba kiseera kye bokka naye yaweebwa omukisa ogw’okuba nga ye w’okulunngamya abantu b’emirembe gyonna egyaddirira n’egiriddirira okutuukira ddala ku Ssaawa ey’enkomerero nga Khatamun Nabiyyiina, eyaggalawo Bannabbi bonna.

    Nnabbi Muhammadi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) ye Nnabbi yekka, mpozzi n’okuba ye muntu yekka mu byafaayo, eyawandiikibwako kalonda yenna akwata ku bulamu bwe. Ekitundu kitono nnyo ku nneeyisa ya Bannabbi abaasooka ennungi ekyatutuukako. Nnabbi Ow’ekitiibwa (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) asigala nga ye yekka mu lujegere olwo olw’emikisa amanyiddwa obulamu bwe bwonna, okuva ku bintu ebitono bye yakolanga mu lunaku okutuusa ku bintu ebikwata ku mbeera ez’obuntu okulaga ewala. Okumanya kuno, olw’okusaasira kwa Allah Oweekitiibwa, kujja kujjululwa okuva ku mulembe okudda ku mulala okutuusa ku nkomerero y’ebiseera.

    Bwe kityo, ekiwa empisa z’Obusiraamu enkizo ne kizirinnyisa okuva mu bintu ebiri mu birowoozo obulowoozo ne kizifuula ezisobola okussibwa mu nkola, gwe mukisa Obusiraamu gwe bwafuna okubeera ng’ebikolwa eby’okulabirako ebya Nnabbi Ow’emikisa (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) nga byonna byawandiikibwa mu bujjuvu bwabyo era ne bikuumibwa okutuusa olwaleero nga tebikyusiddwaamu n’akatono.

    Ng’abantu, tulina okutwala empisa ennungi, omuli okwesiga Allah Owoobuyinza, okusiima, okumatira ne Katonda ky’aba asazeewo, obugumiikiriza nga waliwo ekigezo ekituuseewo oba omutawaana oguguddewo, obuzira, okwewaayo olw’abantu abalala, okugaba, obwetoowaze, obukkakkamu, n’ebirala bingi. Okwo kw’oyongereza nti tulina okusigala nga twepimira amasanyu n’ebizibu ebigwawo mu bulamu bwaffe. Nnabbi Muhammadi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kye kirabo Allah Owoobuyinza kye yagonnomolera obuntu mu kuteekawo ebipimo ebirungi mu ngeri y’okussaawo ebipimo ebituufu eby’empisa zino n’okubirunga obulungi ku lw’abalala.

    Nnabbi Ow’emikisa obulamu bwe yabutandika nga mulekwa, embeera esinga okubeera enzibu mu mbeera za bantu, era n’agenda ng’ayita mu mitendera gyonna emizibu okutuusa lwe yatuuka ku ntikko y’okubeera mu nsi bwe yafuuka Nnabbi nga mu kiseera kye kimu ye mukulembeze w’eggwanga. Abantu bonna mu biti byabwe mwe bagwa baasobola okufuna eky’okulabirako mu mitendera gyonna Nnabbi gye yagenda ayitamu. Olw’ebipimo ebirungi nga Nnabbi ayita mu mayengo ag’enjawulo, abantu ab’ebiti eby’enjawulo basobola okufuna eby’okuyiga okuva mu bulamu bwa Nnabbi ow’omukisa ssi mu birowoozo bulowoozo byokka naye ne mu kubissa mu nkola.

    N’olw’ekyo, engeri yokka omuntu gy’asobola okufunamu emikisa gya Allah Oweekitiibwa kwe kuyiga ebikwata ku bulamu bwa Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) n’omutima ogukankana mu by’omwoyo. Okuyiga okw’ekika ekyo kuteekwa okutuusa omuntu eri okussa mu nkola ebintu by’aba ayize n’okubisomesa abalala. Naye era ekikulu, nga bwe tuyiga ebintu ebyo, tuteekeddwa okwegendereza ne tussa mu nkola nga tuyita mu kkubo ettuufu mu ntambuza y’obulamu bwe, kubanga ebikolwa bya Omubaka wa Allah Ow’ekitiibwa (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) biraga engeri bbiri:

    Ebikolwa ebyeyawulidde Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yekka; okugeza nga bwe yayinzanga okusaala ekiro okutuusa ebigere bye lwe byazimbanga, bwe yasiibanga n’atasiibulukuka ennaku eziwera; bwe yayinzanga okuwaayo byonna bye yabanga nabyo – ng’agamba nti ne bwe byandibadde nga byenkana olusozi lwe Uhudi – ng’abiwaayo nga saddaaka awatali kwesigaliza kantu okuggyako ekyo ekyali kimala okusasuza ebbanja, ate nga teyaleka kintu kyonna kya kusikira basika era n’agaana okubeera ng’afuna saddaaka era n’atakoma ku ye yekka naye saddaaka n’azigaana ne bazzukulu be okutuusa ku nkomerero y’ebiseera.

    Wadde nga Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yali yagamba nti yali muntu ng’abantu abalala (Bukhari, Swalaat 31, Ahkaam 20), naye era kimanyiddwa okuba nga yagaana Basswahaba abamu abaali baagala okukoppa enkola ye ey’okusiiba awatali kusiibulukuka nga bw’abagamba nti, Nze siringa mmwe, kubanga nze Allah andiisa era n’annywesa. (Bukhari, Ekitabo 3, Ekitundu 31, namba 145)

    Abakkiriza tebalina maanyi okukoppa Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) mu bintu ebyo ebizibu bwe bityo. N’olw’ekyo, ebikolwa ng’ebyo byeyawulidde Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yekka ng’abagoberezi be tebakkirizibwa kumugoberera mu bintu eby’ekika ekyo.

    Ebikolwa ebiyinza okukoppebwa buli muntu na mu buli mbeera. Ssunna za Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) ziriwo kugobererwa bantu bonna abagwa mu biti eby’enjawulo era abali mu mbeera ezitali zimu, buli omu okusinziira ku busobozi bwe.

    Tetukakatibwako kugoberera ebirungi ebiri mu bikolwa ebyeyawulidde Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) bye twogeddeko waggulu; ebirungi ebyo ebiri waggulu mu bire bye tutasobola kugoberera. Naye bye twogeddeko mu kitundu eky’okubiri ebyo tulina okubikoppa mu bulamu bwafe bwonna okutuusa lwe tussa omukka ogw’enkomerero, nga obusobozi bwaffe gye bukoma. Olw’okutwala Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) ng’omukulu ennyo mu bulamu bw’omuntu, Abatuluuki batera okuyita buli mwana waabwe erinnya Mehmetcik, ekitegeeza ‘Muhammad omutono’, nga kye beesunga kwe kubafuula abantu abakoppebwa, okusinziira ku bitone bye baba nabyo, mu kussa mu nkola engeri za Nnabbi Ow’emikisa (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) enkulu.

    Okutegeera obulamu bwa Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kikulu nnyo era kiyamba mu kutegeera ekigendererwa n’amakulu ga Kulaane Entukuvu.

    Nga bwe kyogerwa mu Kulaane nti:

    وَإِنَّهُ لَتَنْزِيلُ رَبِّ الْعَالَمِينَ. نَزَلَ بِهِ الرُّوحُ الاَمِينُ.

    عَلَى قَلْبِكَ لِتَكُونَ مِنَ الْمُنْذِرِينَ. بِلِسَانٍ عَرَبِيٍّ مُبِينٍ

    Mazima ddala (Kulaane eno) Bubaka okuva ewa Katonda w’ebitonde. Yagissa Omwoyo Omwesigwa (Malayika Jibuliiru), ku mutima gwo olyoke obeere ow’omu batiisa. Mu lulimi Oluwalabu olunnyonnyofu. (al Shu-araa, 26 : 193 – 195)

    Emyaka amakumi abiri mu esatu gye yamala nga Nnabbi kwali kunnyonnyola Kulaane Entukuvu, ekikifuula ekitasoboka okutandulula ekigere mu kutegeera Ekitabo Ekitukuvu awatali kumanya bulamu bwe.

    Okutegeera enkola y’Obusiraamu mu ngeri entuufu n’okufuna obutuukrivu obw’omwoyo, kyetaagisa omuntu okufuna okuganyulwa mu myaka abiri mu esatu egy’obulamu bwa Nnabbi obwalimu ebintu ebikulu ennyo. Obulamu bw’omwoyo busobola kutuukirira n’amaanyi agava mu Mubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye). Obulamu bwe obutaliimu kwegyalabya bulinga ekisiige omulagirwa ebintu byonna ebirungi ebiri mu Busiraamu.

    Abantu abo abakoowoola abalala okuyingira Obusiraamu oba abasomesa Obusiraamu tebayinza kukola mirimo gyabwe nga tebamanyi bikwata ku bulamu obw’emikisa obwa Nnabbi waabwe (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) okuva lw’ali nti y’awa eby’okulabirako ebisinga okulabika mu kusomesa wamu n’okuyita abantu okujja eri Obusiraamu. Okumanya okw’ekika ekyo kuba kujja kugatta okumanya wamu n’omutima olwo kuteekewo ebipimo ebirungi wakati waabyo byombi.

    Omuvubuka ayagala okubeera omwesigwa mu bantu be, omufuzi w’eggwanga eyettanira okubeera omufuzi omwenkanya mu bantu be, omusajja anoonya okubeera taata alumirwa mukyala we n’abaana be, omuduumizi ow’amagye afuba okuwangula entalo, mu bufunze, Abasiraamu bonna gye bafa benkana, bateekeddwa okufuna eky’okulabirako ekisinga obulungi okuva ku bulamu bwa Nnabbi (Siya’un Nabii).

    Ensonga Lwaki Ekyndo kya Buwalabu

    Kyalondebwa Okubeera Awatandikira Obusiraamu

    Okusobola okutegeera obulungi lwaki Buwalabu yalondebwa okubeera ekifo awaazaalibwa Obusiraamu, twetaaga okumanya embeera, obuwangwa n’ebitendo ebyawula Abawalabu wamu n’okumanya embeera ez’enkula y’ensi n’embeera z’abantu mwe bawangaalira.

    Ensi zikirimaanyi ebbiri, Byzantine ne Peruusia (Persia), zombi zaali za muliraano n’ensi za Buwalabu. Ba Byzantine baalina amatwale mangi era nga baalina ebizibu bingi mu nsonga ezikwata ku ddiini. Abafuzi baago baayonoona eddiini y’Obugoberezi bwa Kristo eyo gye baakyusakyusanga nga bwe baayagalanga. Mu nkiiko zaabwe eza Kkanisa ebyawandiikibwa ebimu baabirangiriranga ng’ebitukuvu ate ebirala ng’ebitalina musingi gwonna, ng’amateka g’eddiini bagakozesa nga bwe baayagalanga. Okuboola mu ddiini baakukozesanga okubayamba mu nsonga z’eby’obufuzi, era ng’ebiseera bingi omukulembeze omuggya yayinzanga okuboola gwe yabanga addidde mu bigere. Emisolo egyabinikibwanga abantu n’enguzi eyakyeyonoonere mu bakozi byayonoona emirandira gy’embeera y’abantu.

    Peruusiya (Persia) nayo yali mu kavuyo ak’empisa n’eby’obufuzi. Eddiini eya Zoroaster yatabangula era n’erinnyirira ekitiibwa ky’omuntu bwe yakkiriza omuntu okuwasa maama we ne muwala we. Bamazda baagamba nti ng’omukka ogussibwa, amazzi, n’omuliro bwe biri bya lukale, abantu nabo baalina eddembe lye limu ku bakyala abo be baali basobola okukozesa awatali kusosola nga bwe guli ku bintu ebirala byonna.

    Obugunjufu bw’Abayonaani nabwo bwetooloolanga bwetoloozo nga gye buva gye budda nga buli kaseera babeera mu kulwanagana kwa Filosofe awamu n’okukkiririza mu bya wongo, so ng’eby’obuwangwa by’Abayindi byasigala nga biri mabega nnyo, mu mpisa ne mu mpangaala yaabwe.

    Ku ludda olulala, Abawalabu bo baasigala nga bawangaalira mu bibiina by’abantu abalinga baliraanye era nga beetooloddwa eddungu eddene, ekintu ekyabakuuma obutafuna bweraliikirivu bwa kuzinduukirizibwa okw’amagye ne mu by’obuwangwa. Abawalabu tebaafugibwako mu nfuga y’amatwale; bwe batyo ne basigala mu mbeera yaabwe nga teboonooneddwa bya buwangwa biva bweru. Obutonde bwabwe nabwo tebwakwatibwako. Empisa nga okukuuma ensa, omuntu okukuuma ekigambo kye, okugaba, obuzira n’obugumiikiriza, n’ebirala, byali bikyali birungi nga bikyabalimu, okuggyako nti olumu byayitiriranga ne bibuuka ensalo oba ne bikendeera ne bifuuka bitono nnyo, ne bitabeera mu bipimo ebituufu ebituukana n’embeera za bantu ez’obutonde. Awatali mulunngamya abalagirira ekkubo ettuufu, baawangaaliranga mu kizikiza eky’obutamanya.

    Obutamanya bwabwe n’obuddu eri obwagazi bw’emitima gyabwe byali bibikkiridde embeera ennungi eyali yeekwese wansi w’embeera zaabwe ez’obutonde. Olw’okutya nti bawala baabwe baali bayinza okuwambibwa mu ntalo ne batwalibwa ng’abaddu olwo ne babakaka okukola obwamalaaya (ekintu ekyandibamazeemu ensa n’okubaswaza), Abawalabu bamusinzabibumbe basobolanga okutta bawala baabwe amabujje nga bayita mu kubaziika nga balamu, ekintu ekyalumanga ennyo bamaama b’abaana. Abawalabu era baayinzanga okweggyako ebintu kwe baabanga bayimiridde mu kuwangaala kwabwe ne babigaba basobole okukuuma erinnya lyabwe ng’abagabi. Obuzira bwabwe n’okulaga obutatya byayinzanga okubatuusa okwetaba mu ntalo ezitakoma. Ebyavanga mu ntalo ezo kwabanga kuyiwa musaayi omuyitirivu. Okujja kw’Obusiraamu n’okujja kwa Nnabbi Ow’ekitiibwa byakyusa amayengo gano, empisa embi zonna oba ezaakozesebwanga obubi ne bizitereeza eri ekkubo ettuufu, era ne biggyawo ebintu byonna ebyavanga mu kukozesa obubi empisa zino.

    Ensonga endala eyavaako Buwalabu okulondebwa okubeera ekifo awaali obuzaale bwa Nnabbi ow’enkomerero kwali kuggyawo kubuusabuusa kwonna okwandizzeewo ku Nnabbi okubeera omutuufu era n’okubeera Omubaka wa Allah Oweekitiibwa. Okuva Abawalabu lwe baali abantu abaali batamanyi kusoma na kuwandiika baasigala nga tebakwatiddwaako byabuwangwa ne filosofe eby’amawanga agaali gabeetoolodde. Singa Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yali amanyi bulungi eby’obuwangwa n’ebyali bituukiddwaako mu bugunjufu obw’amawanga agaali getooloddewo, wamu n’ebyali mu bitabo byabwe ebitukuvu, wandibaddewo okubuusabuusa nti Nnabbi eby’obwannabi yali abiyiiyizza ng’ajja ku bye yali ayize okuva mu bantu abalala. Mu ngeri y’emu, olw’entalo zaabwe ezaava mu byafaayo byabwe ebiwanvu, Abaperuusi oba aba Byzantine bandikisanze nga kizibu okukkiriza Obusiraamu singa eddiini eyo yali evudde mu kitundu ekimu ku bino. Okwo kw’ogatta eky’okuba nti abantu abalala bandirowoozezza nti Obusiraamu bwali buva mu emu ku mbeera ezo okusinga okubeera eddiini eyava ewa Katonda Owoobuyinza. Okuggyawo okubuusabuusa kwonna, Obusiraamu bwe butyo bwasindikibwa mu bantu abaali batamanyi kusoma wadde okuwandiika nga buyitira mu mikono gya Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) eyali tasomangako, ng’ekyo kiggyawo okugamba nti Obusiraamu bwayiiyizibwa Nnabbi eyasoma era nga bwatandikira mu bantu abaali abayivu.

    Buwalabu era yalina enkizo olw’ekifo ky’erimu ku maapu y’ensi ng’eri wakati wa Bulaaya, Asia ne Africa, ekintu ekyayanguyiza okusaasaana kw’Obusiraamu n’okutuuka ku bantu. Kulaane Entukuvu era ennyonnyola Makka ng’ekitundu ekitali kirungi kulimiramu, ekintu ekyali eky’okuwaliriza abantu baamu okutambula ennyo okusobola okufuna ebintu ebibayamba mu bulamu bwabwe. Abantu abawangaalira ku kulima batera okubeera n’akakwate ku ttaka lyabwe era nga tebatera kutambula kugenda wala. Mu ngeri y’emu abantu abakola eby’emikono nabo babeera n’akakwate ku bifo mwe balukira ebintu byabwe era nga nabo tebatera nnyo kuva mu kifo kulaga mu kirala. Naye ng’abasuubuzi, Banamakka baali bamanyidde okutambula enngendo empanvu ekintu ekyayamba ennyo Obusiraamu okusaasaana nga wayiseewo akaseera. Enkizo eyo gye baalina ey’okutambula enngendo ne batuuka mu nsi ezeewala n’obumanyirivu bwe baalina mu kukolagana n’abantu ab’enjawulo kiyinza okubalibwa ng’ensonga endala lwaki Obusiraamu bwatandikira mu bantu b’e Makka.

    Okwagala kwa Katonda kwawa olulimi Oluwalabu omukisa okubeera nga lwe lulimi obubaka mwe bwayita okusinziira ku bitendo ebisuffu ebiri mu lulimi olwo. Bw’olugeraageranya n’ennimi endala, olulimi Oluwalabu lulina enkizo mu ngeri gye lukwataganamu n’engeri ebigambo gye bitabibwamu, ebigambo engeri gye bizaalukukamu, engeri gye luyungibwamu, n’ebirala bingi. Oluwalabu lulina amaanyi ag’okussa amakulu agasinga obuzibu mu bigambo ebisinga obwangu, awatali kubuza kigendererwa mu makulu ago. Obugagga bwalwo bulusobozesa okunnyonnyola ebirowoozo ebitategeerekeka mu ngeri ennambulukufu eyeekyewuunyo. Olulimi Oluwalabu lwali lwamala dda okukula, ekyalufuula olulimi lwokka mu kiseera ekyo olwali lusobola okutuusa Katonda bye yali ayagala mu ngeri eyali esinga obutuukirivu.

    Ekizinga kya Buwalabu nakyo kyali kifo kya mukisa. Jjajja wa Nnabbi Muhammadi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) owedda yawangaalira mu kitundu kino era n’azimba Ka’aba, ng’omusingi gwayo gwali gwa dda ng’ebyafaayo by’omuntu gye byatandikira. Olw’okuba nga kino Bannamakka baali bakimanyi, beebalanga ng’abasika ab’eby’omwoyo aba Bulayimu ne Ismaaila emirembe gibeere ku bo. Eno y’ensonga endala eyabayamba okukkiriza n’okutegeera Obusiraamu.

    Wadde ng’omuntu ayinza okunokolayo ensonga endala eziwera ku nsonga lwaki ensi eno yalondebwa okukkiramu Obusiraamu, waliyo ensonga endala eyo gye tutayinza kutegeera eyalondesa ekifo kino nga Allah Oweekitiibwa Yekka y’agimanyi. N’olw’ekyo tuba tuwulira nga tuteekeddwa okukomekkereza ebigambo bino n’ebigambo ebigamba nti "اللّٰهُ أَعْلَمُ بِمُرَادِهِ» : Allah y’asinga okumanya ky’ayagala.

    Makka: Maama w’ebibuga

    Makka emanyiddwa nga maama w’obubuga, era emanyiddwa nga Bakka oba ekibuga eky’emirembe. Mu lulimi olu Babilooni, Makka ne Bakka bitegeeza ennyumba. Makka ennene yeetooloddwa Yamani mu maserengeta, Ennyanja ya Mediterranean (Mediterranean Sea) mu mambuka, Olugolomero lwa Persia (Persian Gulf) mu buvanjuba n’ennyanja emmyufu (Red Sea) mu bugwanjuba. Eri mu masekkati g’amakubo agagatta zi ssemazinga, naddala Africa, awo omwalo gwa Jidda we gwakoleranga omulimu omunene okugatta Makka ku makubo ag’ennyanja. Mu Makka, ekifo awali Ka’aba kyayitibwanga Batw’haa, ate akabuga kaayitibwanga Batnu Makka.

    Makka yatandikibwawo Nnabbi omututumufu owa Allah Oweekitiibwa, Bulayimu (emirembe gibeere ku ye). Bulayimu, taata wa Bannabbi, yalina omukyala ng’ayitibwa Sarah eyali omugumba nga tamuzaaliranga mwana. Olw’ekizibu kino, Sarah yawa bba Bulayimu (emirembe gibeere ku ye) omuddu we omukazi eyayitibwanga Hajara ne bafumbiriganwa oluvannyuma lw’okumuta. Obufumbo buno bwavaamu ebibala eby’omwana Ismaaila (emirembe gibeere ku ye), oyo eyavaamu Ekitangaala kya Muhammad, ekintu ekitaasanyusa Sarah eyali yeesunga ekitangaala okuva mu ye. Ng’alabye ekitangaala ekyali eky’okuyitira mu Ismaaila nga kiva mu yali omuddu we Hajara, Sarah yafuna ennaku ennyingi. Yasaba bba Bulayimu (emirembe gibeere ku ye) okuggyawo Hajara ne Ismaaila (emirembe gibeere ku ye) abatwale mu kifo ekiri ebunaayira. Naye eno ye nsonga eyali erabikako eri emabega w’okusalawo kwa Katonda. Bwe kityo, Bulayimu (emirembe gibeere ku ye) yassa mu nkola ekiragiro kya Allah Oweekitiibwa n’atwala omwana ne maama we e Makka, ng’akulembeddwa Malayika Jibuliiru. Bwe baatuuka e Makka, Jibuliiru kwe kugamba Bulayimu (emirembe gibeere ku ye) ateeke abantu be awo.

    Bulayimu (emirembe gibeere ku ye) yeemulugunya nga bw’agamba nti:

    Ekifo kino tekisobola kulimirwako wadde okulundirwako.

    Naye Jibuliiru yamukkakkanya nga bw’amugamba nti:

    Kituufu… Naye mu bazzukulu ba batabani bo mujja kuvaamu Nnabbi atasomye. Era ne Nnabbi oyo Ekigambo kya Katonda ek’yobwannamunigina n’obumu bwe (tawhiidi) kijja kujjula. (Ibn Sa’ad, I, 164)

    Abdalla b. Abaasi (Allah amusiime) anyumya nti:

    "Nnabbi Bulayimu yatwala maama waffe Hajara ne mutabani we, ng’akyali muwere, e Makka gye yabaleka emabega w’omuti ogwali okumpi n’ensulo ya Zamzam eyali erindirirwa okusimibwa. Yabawa ekisero ky’entende n’ensawo y’amazzi ey’eddiba. Bwe yali ali kumpi okudda eka, Hajara yamubuuza bw’atyi:

    Allah ye yakulagidde okutuleka wano mu nsi enkalu?

    Bulayimu yamuddamu nti: Yee".

    Hajara kwe kugamba, mu kwewaayo eri Allah okw’ekika ekya waggulu n’obwesige obungi mu Ye, nti:

    Bwe kiba bwe kityo Katonda waffe ajja kutukuuma. Tetujja kulekebwa ttayo.

    Oluvannyuma yadda awaali mutabani we Ismaaila. Ku ludda olulala, Bulayimu yatambula mukungujjo. Naye bwe yatuuka we baali batakyamulengerera, yasitula emikono gye mu bbanga n’asaba bw’atyi:

    رَبَّنَا إِنِّي أَسْكَنْتُ مِنْ ذُرِّيَّتِي بِوَادٍ غَيْرِ ذِي زَرْعٍ عِنْدَ بَيْتِكَ الْمُحَرَّمِ رَبَّنَا لِيُقِيمُوا الصَّلوةَ فَاجْعَلْ أَفْئِدَةً مِنَ النَّاسِ تَهْوِي إِلَيْهِمْ وَارْزُقْهُمْ مِنَ الثَّمَرَاتِ لَعَلَّهُمْ يَشْكُرُونَ

    Katonda waffe! Mazima ndese abamu ku bantu bange mu lusenyi olutabeeramu birime, okumpi n’Ennyumba Yo Ey’emizizo, Katonda waffe, basobole okuyimirizaawo esswala. N’olw’ekyo nkusaba ofuule emitima gy’abantu abamu gibayaayaanire era obagabire ebibala oboolyawo ne beebaza. (Ibraahiim, 14 : 37) (Bukhai, Anbiyaa, 9)

    Ng’amaze okuleka mukyala we n’omwana we omu yekka gwe yalina mu nsi eno enkalu eteddamu kantu, Bulayimu (emirembe gibeere ku ye) yasaba Allah Oweekitiibwa bw’atyi:

    رَبِّ اجْعَلْ هذَا بَلَدًا آمِنًا وَارْزُقْ أَهْلَهُ مِنَ الثَّمَرَاتِ

    مَنْ آمَنَ مِنْهُمْ بِاللّٰهِ وَالْيَوْمِ اْلآخِرِ

    Katonda wange! Nkusaba ofuule ekifo kino ekibuga eky’emirembe era ogabirire abantu abakirimu ebibala oyo (yekka) mu bo aba akkirizza Allah n’Olunaku lw’enkomerero. (al Baqara, 2 : 126)

    Allah Owoobuyinza yakkiriza edduwa ya Bulayimu, abatali bakkiriza n’abaggyamu mu kusaasira kwe era n’abalagaanyisa ebibonerezo eby’amaanyi mu bigambo bino:

    قَالَ وَمَنْ كَفَرَ فَأُمَتِّعُهُ قَلِيلاً ثُمَّ أَضْطَرُّهُ

    إِلَى عَذَابِ النَّارِ وَبِئْسَ الْمَصِيرُ

    N’agamba nti: ‘N’oyo aliba awakanyizza, nja kumuwa okweyagala akaseera katono n’oluvannyuma muzze eri ebibonerezo by’Omuliro n’obuddo obubi ennyo. (al Baqara, 2 : 126)

    N’olwaleero, okusinziira ku dduwa Bulayimu (emirembe gibeere ku ye) gye yasaba Allah Owoobuyinza ajjuza emitima gy’abalamazi okwagala n’okuwa Ka’aba Entukuvu ekitiibwa. Emitima gifuna emirembe n’obutebenkevu ebitenkanika nga giri mu bifo ebyo ebitukuvu.

    Amazzi amatono Bulayimu ge yalekera Hajara tegaabamazaako kaseera kawera era gaggwaawo mu kaseera mpa we kaaga. Hajara yadduka nga bw’ava ku kasozi ka Swafa n’adda ku kasozi ka Mar’wah ng’asuubira okufuna amazzi era nga kino yakikola enfunda ezaawera omusanvu. Ebbanga eriri wakati w’obusozi buno obubiri liwera mita ebikumi bina (400). Bwe yabanga adduka ate nga bw’atunula ku mutabani we mu nsonda z’amaaso ge. Yali talaba bulamu mu kitundu; nga tewali muntu, wadde ekinyonyi. Bwe yatuuka ku Kasozi k’e Mar’wa yawulira eddoboozi nga limulagira nti:

    Siriikirira owulirize!

    Hajara yaddamu nti: Yee, nkuwulira… Nkusaba otuyambe bw’oba osobola!

    Yalaba malayika ng’esima ensulo ya Zamzam ng’ekozesa ebiwawaatiro oba ebisinziiro. Amazzi gatandika okufukumuka nga gava mu ttaka. Hajara yasanyuka n’asooka okujjuza eddiba ly’amazzi. Naye gye yakoma okusena amazzi n’emikono gye n’amazzi gye gaakoma okufukumuka. Kye yakola kwe kukolawo oluzzi olutono okukunngaanyizaamu amazzi agafukumuka, nga bw’addinngana ekigambo nti: ‘zam zam’ mu kiseera kye kimu amazzi ng’ayagala galekere awo. (‘Zam zam’ kitegeeza ‘lekera awo, lekera awo’).

    Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yagamba nti, Allah asaasire maama wa Ismaaila! Singa teyayanguyiriza kujjuza nsawo ye ey’amazzi ey’eddiba okuva mu luzzi lwa Zamzam, Zamzam n’olwaleero gwandibadde mugga ogukulukuta ku nsi. Ibn Abaasi yayongerako nti, Nnabbi Bulayimu yaleeta Ismaaila ne maama we e Makka nga maama we amuyonsa ng’alina ensawo y’amazzi ey’eddiba. (Bukhari, Anbiyaa, 9)

    Maama ne mutabani we baabeera bawangaalira ku mazzi okuva mu Zamzam. Waayitawo akaseera katono, ekika kya Jur’hum ekyali kiyita okumpi n’ekitundu ekyo ne balengera ekinyonyi ekyali kikka nga bwe kibuuka mu kifo ekimu. Baateebereza nga bwe waali wayinza okubeerawo obulamu mu kitundu ekyo kwe kutuma abantu babiri bagende balabe. Bwe baakizuula nga bwe waaliwo ensulo, baasaba okukkirizibwa okusenga okumpi n’oluzzi. Hajara yabakkiriza naye n’abateekako akakwakkulizo ak’obuteefuula bannannyini nsulo. Bajurhum bakkiriza, ekintu ekyabafuula ekika ekyasooka okusenga mu Makka.

    Nga wayise ekiseera ekibuga Makka kyafuuka eggwanga. Mu mwaka gwa 207, Bajur’hum bwe baagaana ekika kya Khuzaa okusenga mu Makka, Bakhuzaa bawamba ekibuga. Batabani ba Ismaaila tebeetaba mu lutalo luno era abafuzi abapya ne batabatuusaako mutawaana. Bakhuzaa baafuga ekibuga emyaka egyawera, era mu kiseera ekyo baava ku mulamwa gw’eddiini ya Bulayimu entuufu. Baawagira okusinza amasanamu ne bawagira ensinza enkyamu. Baateekawo essanamu lye baatuuma Hubal. Batabani ba Ismaaila bwe baafuna amaanyi nga bakulirwa Quswayy, baagoba Bakhuzaa mu Makka mu mwaka gwa 440.

    Quswayy yateekawo Dar’un Nad’wa eyakolanga nga paliyament mu kibuga Makka wamu n’ebitongole ebirala bye yateekawo okulabirira obulamu bw’embeera ya bantu n’eddiini. Emirimo emitongole nga okuduumira eggye mu ntalo wamu n’okukuuma bbendera (qiyadah), okulabirira Ka’aba (Sidaanah, hijaabah), okuwa abalamazi amazzi (siqaayah) n’okuliisa abalamazi okuva mu misolo egikunngaanyizibwa (ridhwanah) byonna byali mu buvunaanyizibwa bwa Quswayyi. Nga tannafa, yaleka alaamye ebintu ebyo bisigale mu mikono gya bazzukulu be Abdu’ddaar ne Abdu Manaaf, olwo n’atandika enkola ey’ensikirano ey’ebintu bino okusikirwa okuva ku taata okudda ku mwana.

    Abatuuze bonna ab’e Makka baasobolanga okwetaba mu ntuula za palamenti kasita baawezanga emyaka amakumi ana. Wabula, enkola yali nti bakulu ba mpya oba mayumba bokka be beetabanga mu ntuula zino. Ekyewuunyisa

    Enjoying the preview?
    Page 1 of 1